Take a fresh look at your lifestyle.

Yiino ebaluwa eyogeza abantu obwama Omubaka Nambooze jeyawandikidde Ssabasajja Kabaka Mutebi

Kabaka ggwe ssanyu lya Baganda,ng’ogyeeko ekisa kya Katonda n’obuyinza bwe mpaawo akwenkana era Katonda ow’obuyinza yeyatuuwa ensi yo eno Buganda ekkula natuuwa naawe okukulembera Obuganda nga bajjaabo bwebakola kumpi kati emyaka 1000.

Baffe nkuloopera nti Abaganda yonna gyebali baatidde nnyo, bwewabonese nga essanyu,akamwenyumwenyu, kajambo ko bulijjo kootuwubira ng’omukono guli waggulu tebabiraabyeko. Ebigambo byo ebipime byokozesa okulamula Obuganda kuluno tetwabiwudde.

Abaganda baatidde nnyo!! Obulamu bwo Ccuucu butegeeza kineene gyetuli…era nebwetulowooza obulowooza nti toli bulungi tuwulira ng’ensi ekomye.

Ekyasinze okutunakuwaza kwekuba nti ate Musajjawo Ssabasumba Cyprian Lwanga yabadde yakaseerera mu mbeera eya mantambutambu! Ate era Beene basajjabo bangi ab’ensonga bavudde ku nsi mu ngeri etetegereekeka!

Eyalumwa ku Musota,Beene ne bwalaba omunya adduka…ggwe kikubagizo kyaffe mu Uganda eno etwefuulidde.

Ssabasajja abantu bo abamu abagereesa ebitatuukana na mutindo gw’obutegeevu n’obuntu bulamu bwa Baganda,nnaku yebanafuyizza mu kamanya ensonga.

Ate Beene nkusaba nyongere okukuloopera nti waliwo obutakanya,wakati wa bavubuka bangi ne Kamalabyona. Omutanda nkuba nkukube ssi bufumbo,bwatyo Mukuuma Ddamula buli lwawanvuya amaloboozi eri abavubuka abali mukutya n’okulumwa ate abasikuula busiikuuzi.

Nannyinimu,otusonyiwe olwembekuulo eteereddwa ku nsonga z’embuga.Ate Maasommogi Mukama wange,ssi buli akaaba nti alumwa…Abalabe ba Buganda bangi,beeyita amannya amapaatiike ne balyooka bamokkola aggagambo! Gutusinze nnyo Ssabasajja.

Embeera gyoolimu Mukama wange kya mazima yetaaga bukakkamu na kukkaanya…Kekasiriikiriro abamu mwetuli…twagala Nannyinimu omwoyo gukube wamu mu kaseera kano.Ggwe Mutebi abatekateeka okutukuba omuggo ojja kubatebuka….Ggwe Luwangula omwana wa Muteesa,Muzzukulu wa Chwa, abalabe bo ojja kubawangula. Tetubuusabuusa busobozi bwo mu kulamula Obuganda wadde ne mumbeera gyetuyitamu.

Magulunnyondo,Kamwa kabi kassa ssiroganga…Abayogerera Buganda ebikikinike balinga abatusoomooza tusitule enyago. Kyokka ate Ssabalongo ggwe wekka ggwe agaba olutabaalo…Tetuli batiitiizi ate tetuliba…ensonga yokka ekyatuwanisizza engabo mu nsonda za mayumba gaffe kwekuba nti Ssemunywa tonnagaba lutabaalo.

Tewabaawo babuusabuusa nti Kabaka waffe bwoligwa tugenda kukubuuka tutabaale abalabe bo. Mukama kuuma Kabaka waffe.

Kulwa Katonda n’ensi yaffe…Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emeeme emu..
Wangaala Magulu Nyondo. Bya Watchdog Uganda

Leave A Reply

Your email address will not be published.