Take a fresh look at your lifestyle.

Ensonga lwaki Rukutana yaziddwa mu Komera!

Abaserikale baamakomera mwenda baafulumye nga beebulungudde Rukutana ne bamutambuza mukungujjo nga tatunula mabega okumutuusa ku mulyango gw’emmotoka y’amakomera.

Bino byonna nga bigenda mu maaso, abooluganda lwe naddala abaana nga bakulukusa maziga balengera ‘ddadi’ waabwe bamukunguzza!

Okwetoloola kkooti wonna eby’okwerinda byabadde binywezeddwa nga wakuumibwa poliisi n’amagye era abantu baabulijjo tebaabakkirizza kusembera kutuuka ku kkooti.

Rukutana bamutuusizza ku kkooti ku ssaawa 4:45 ez’oku makya ne bamuyingiza butereevu mu kkooti Omulamuzi gye yakkirizza okubeeramu abooluganda abatono ennyo mpozzi n’abaabadde bazze okumweyimirira okwabadde Maj. Gen. Jim Muhwezi ne mukyala we, Omubaka Michael Mawanda owa Igara West, abasuubuzi Bob Kabonero ne Hajji Ali Mutebi ow’e Ntungamo.

Kkooti olwasomedde Rukutana emisango, Bannamateeka be, Gashom Kamugisha ne Owen Murangira ne basaba kkooti ekkirize bamweyimirire era Omulamuzi olwamaze okuwulira okusaba kwabwe n’alagira nti agenda kuwa ensala ku nsonga eyo nga September 15, bw’atyo n’alagira bamuzzeeyo ku limanda.

Bangi baasigadde tebamatidde era bannamateeka ne bategeeza nti omuntu waabwe tagenda kusobola

kufuna bujjanjabi bwe yeetaaga ng’ali mu kkomera kubanga alina obulwadde obumwetaagisa okulaba abasawo.

Rukutana yasoose okusimbibwa mu kkooti ku Mmande mu maaso g’Omulamuzi Nazifah Namayanja ne bamusomera emisango musanvu bw’atyo n’amutegeeza nti yabadde tasobola kuwulira misango egiri ku ddaala lino n’amusindika ku limanda mu kkomera ly’e Mbarara e Kakika.

Bangi baasigadde bewuunaganya lwaki Rukutana bamuzzizza mu kkomera, naye ng’ekituufu kyabadde nti omulamuzi wa kkooti eyabaddewo yabadde talina buyinza kuwulira musango ogwo.

Wabula eggulo yabadde mu maaso g’Omulamuzi akulira kkooti ento era akkirizibwa okuwulira emisango egimuvunaanibwa kyokka yasazeewo n’amuzza ku limandi.

Kkooti yamusomedde emisango musanvu okuli okugezaako okutta omuntu, okwonoona ebintu, okukuma omuliro mu bantu, okulumya abantu.

Kigambibwa nti Rukutana yalumbya Daniel Rwebubingi, n’ayonoona emmotoka ekika kya Toyota Raum, nnamba UAR 840 eya Moses Muhumuza n’okukuba Julius Niwamanya n’amutusaako obuvune obwamaanyi.

Bannamateeka be baategeezezza nti, bagenda kuddayo basabye kkooti akomezebwewo mangu kkooti ewulire okusaba kwe.

Leave A Reply

Your email address will not be published.