Take a fresh look at your lifestyle.

Ebya Trump Bibi!

Abawagizi be nabo bamuvuddemu, bekalakaasizza!!

Abawagizi bano abeeyita ‘Proud Boys’ bazze beetegese nga balina n’ebyokulwanyisa okwabadde emmundu, ebiso, emiggo n’obucupa bwa kaamulali bwe baafuuyidde bannaabwe mu maaso. Bano baabadde mu kibuga Oregon era poliisi we yajjidde okubakkakkanya ng’omusaayi guyiise.

Abawakanya ebikolwa by’okutulugunya Abaddugavu beekuhhaanyizza nga baagala okuyisa ebivvulu nga bakutte embuukuuli z’emiggo n’abawagizi ba Trump ne beetegeka n’ebyokulwanyisa byabwe.

Bino bibaddewo ng’ebula wiiki munaana zokka bakube akalulu mu Amerika okulonda Pulezidenti addako, Joe Biden olwalabye Trump ng’atandise okutabuka ne basajja be n’ategeeza nti ye lutindo olugenda okugatta abantu bonna mu bukulembeze obuliwo n’ebiseera by’omu maaso.

Biden yagenze okwogera bino nga Trump yaakamala okutabukira Gen. John Kelly eyali akulira embeera z’abaserikale mu White House nti y’azunza ebigambo bye bamuteekako nti yatyoboola abazira ba Amerika be baaziika e Bufalansa n’abayita abajega.

Ekyongedde okutabula Trump, be bakugu okufulumya lipooti ku mbeera y’akalulu nga bw’eyimiriidde mu kiseera kino ne bategeeza nti okuva ebigambo ebyo lwe byafulumiziddwa wiiki ewedde, addiridde okusinziira ku maanyi ge yabadde afunye okuva lwe baamaliriza ttabamiruka.

Wano Biden yeesowoddeyo mangu n’ategeeza nti obubonero bwonna obuliwo bumulaga nti amasaza Trump ge yawangula mu 2016 nga Michigan, Pennsylvania ne Wisconsin kuno agatteko obuwanguzi obwamaanyi bw’azze afuna mu masaza nga North Carolina, Florida ne Arizona agalabika nti okuva 1980 ebyenfuna byago okuva mu makolero biddiridde ate ne bikosebwa nnyo ekiseera kya Corona nga Trump ali mu ofiisi.

Okuddamu okuwangula ebitundu aba Republican gye babadde n’obuwagizi obw’amaanyi nga kati Biden yeeraba nti ebivaayo agenda yeeyongera amaanyi olw’ebyenfuna ebigudde mu bitundu ebyali eby’amakolero, we yasinzidde okweyita olutindo olugenda okuyunga aba Democrats okubatuusa mu White House.

TRUMP ATABUKIDDE GENERO:

Trump okutuuka okutabuka kyavudde ku mukutu gwa Atlantic okufulumya amawulire nti yayogedde ku bazira abalwanirira Amerika be baaziika mu limbo e Bufalansa n’abayita abajega.

Yeewuunyizza Gen. Kelly munnamagye eyawummula okuva mu ggye ery’empingu gwe yali yalonda okubeera omuwabuzi we n’amugoba olw’okulemwa emirimu nti kati ali mu kubungeesa bigambo.

“Kelly mmumanyi bulungi twakola naye okumala ekiseera kyokka emirimu gyamulema, yali aweddemu nga takyasobola ne mmukwata ku nkoona,” Trump bwe yacwanye ng’agamba nti aba Democrat balemeddwa okuzannya ebyobufuzi eby’ekikulu.

Baasooka kukimuteekako nti musosoze mu langi n’asooka abyegaana kyokka gye buvuddeko azze avaayo n’akiraga lwatu ng’awagira abaserikale Abazungu abazze batuusa ebikolwa eby’obukambwe ku Baddugavu.

Leave A Reply

Your email address will not be published.