Take a fresh look at your lifestyle.

Basajja Mivule Akwatiddwa!

Kumakya ga leero poliisi esazeeko ettabi lya Baba Tv erye Kampala n’eyoola munnamawulire  Basajja Mivule.
Mivule akola pulogulamu eyitibwa Fumitiriza ku Baba Tv ng’asinga kutunulira bya bufuzi n’engeri gye bitambulamu mu ggwanga.
Mivule amanyiddwa nnyo ng’omusajja ateerya ntama era ataluma mu kigambo ssinga abeera asazeewo kwogera ku nsonga era y’omu kuba namawulire abaludde nga bawereza pulogulamu z’eby’obufuzi ku Tv ne Radio mu Uganda.
Kumakya ga leero Baba Tv ekedde kuwanika bubaka ku mukutu gwaayo ogwa Facebook okukakasa ng’omukozi waabwe bwakwatiddwa wabula ensonga emukwasizza tenamanyika.
Ono yegasse ku bannamawulire aba Radio Ssimba abazannya katemba mu kibiina kya Bi9zonto akwatibwa wiiki ewedde nga nabo basingibwa bawereza ku mpewo.

Leave A Reply

Your email address will not be published.