Take a fresh look at your lifestyle.

“Tulumbiddwa” – Bobi Wine atidde.

Omuyimbi Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) kyadaaki ng’omuyimbi ayogedde ku mateeka gavumenti g’eyagala okuteeka ku bayimbi n’abazannyi ba katemba mu Uganda.

Mu katambi keyawanise ku mukutu gwe ogwa Facebook, Bobi Wine yatandise n’okusuna ennanga nga bwayimba akayimba ka Madox Ssematimba “Omuyimbi” era neyeyanjula.

Yagambye nti gavumenti ekoze obulumbaganyi ku bayiiya b’emizannyo, ennyimba awamu n’abayimbi benyini era nabajjukiza ekyamutukako emyaka 2 emabaga gavumenti bweyawera ebivulu bye nti abayimbi abasinga balowooza nti kino kyali ku Bobi Wine Yekka .

Akatambi ka Bobi Wine (Waggulu)

Yanokoddeyo abayimbi ne banna katemba kati abali mu makomera okuli Gerald Kiweewa ne Bizonto nagamba nti bano ekyabasibya kuyimba na kwogera mazima era nti ssi kya bwenkanya gavumenti okutandika okussa ku bayimbi amateeka nga gano.

Okusinziira ku Bobi Wine, agamba nti okuyimba kwamufuula kyali era nafuuka kyantiisa eri gavumenti n’olwekyo amateeka gano galeteddwa okuziyiza ba Bobi Wine abalala okukula nga bava mu kisaawe kya katemba n’okuyimba.

 

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.