Take a fresh look at your lifestyle.

Museveni akungubagidde Mkapa naye amuyigiddeko kki?

  1. Pulezidenti Museveni akungubagidde eyali Pulezidenti wa Tanzania Benjamin Mkapa era okulaga okunyolwa bendera za Uganda n’ez’omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika za kwewubire mu makkati ga mirongooti okumala ennaku satu ng’akabonero k’okukungubaga.

Bino byabadde mu kiwandiiko ekyasomeddwa minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Esther Mbayo ku Media Centre.

Museveni n’omugenzi Mkapa gyebuvuddeko

Mkapa ye yali pulezidenti wa Tanzania ow’okusatu era yafuga ebisanja bibiri okuva 1995 okutuusa 2005 n’ava mu buyinza era yafudde alina emyaka 81.

Museveni yayogedde ku mugenzi ng’abadde omusajja omwagazi w’emirembe era alwanirira obumu kulukalu lw’omuddugavu Africa.

Yagambye nti omugenzi yayamba nnyo okunyweza enkolagana ya Uganda ne Tanzania  n’enkolagana y’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika.

Mkapa yayamba mu kukyusa ebyefuga ya Tanzania okuva ku nkola ya ‘’naakalyako ani (socialist)  okulizza ku nkola y’ebyenfuna ebya naasiwamukange.

Mkapa yafiridde mu ddwaliro mu kibuga kya Tanzania ekikulu Dodoma, era yalwanirira nnyo enkulakulana ya Tanzania ate naawa abakulembeze abalala omwagaanya okutwala eggwanga mu maaso.

Abakulembeze ba Africa abaludde mu ntebe balina kyebayiga okuva ku bulamu bwa Mkapa?

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.