Take a fresh look at your lifestyle.

Bitabuse-Corona asse omuntu mu Kampala!

Afudde abadde mukyala ow’emyaka 80 mu ddwaliro e Mengo nga yasooka kujanjabibwa mu ddwaliro lya Platinum kulw’okutaano lwa wiiki ewedde.

Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza amawulire g’okufa kw’omugenzi ono era  aba munna Uganda wakubiri okufa ekirwadde kino eyasooka yali mukyala wano mu Uganda.

Afudde yalabika ng’alina obubonero bwa Corona Virus okuli ekifuba, omusujja, okulumizibwa mu kifuba awamu n’obuzibu mukussa.

Mukiseera kino omuwendo gw’abalwadde ba Covid19 mu Uganda gukyakula ng’olwalero abalwadde abalala 12 bakakasiddwa olwaleero, kuno kuliko ba dereeva b’ebimotoka bya lukululana 7 n’abo abafuna obulwadde buno okuva ku bantu abakomawo kuno.

Mukaseera kano gavumenti ya Uganda etandise okukendeeza ku bukwakulizo bwebadde etadde ku banna Uganda mukiseera kino eky’omuggalo wabula kirabika nga ekirwadde kitandika butandisi okunyinyitira n’olwekyo gwe asoma bino wekuume.

Leave A Reply

Your email address will not be published.