Take a fresh look at your lifestyle.

”Mwe Mwatuusa Ensi wano” Mutuleke Tubogereko – John Ssegawa

Ssegawa agamba nti abamu ku banaabwe basubizibwa ensimbi ne situduyo olwo nebakozesebwa mukubaga amateeka gano era alumiriza nti amateeka tegaleteddwa mumutima mulungi.

Bannakatemba n’abayimbi e Uganda batuula bufofofo oluvanyuma lwa gavumenti ya kuno ng’eyita mu minisitule y’ebyempuliziganya okuleeta amateeka amakakali ku bayimbi n’abazanya katemba.

 

John Ssegawa nga y’omu kubannakatemba abamaanyi mu Uganda bweyabadde ku “show” ya UnCut ku Nbs Tv yategezezza nti waliwo akabinja kabanaabwe ababaliddemu olukwe nebateeka emikono ku mateeka gano agagenda okubanyigiriza ennyo nga bakola emirimu gyabwe.

Ssegawa agamba nti abamu ku banaabwe basubizibwa ensimbi ne situduyo olwo nebakozesebwa mukubaga amateeka gano era alumiriza nti amateeka tegaleteddwa mumutima mulungi.

Ebimu ebikanze abayimbi ne bannakatemba

 1. Okusookanga okuwa gavumenti “Script” y’oluyimba nga terunayimbibwa oba omuzannyo nga tegunazanyibwa.
 2. Ensimbi ennyingi ezigenda okubinikibwa abayimbi ne banna katemba ate nga zibalibw amu doola
 3. Obukwakulizo obuyitiridde ku bivvulu.

Teacher Mpamire olwalabye bino neyekubira enduulu ayagala kuva Ugannda!

Bino webitukidde nga banna katemba ba Bizonto n’omuyimbi Gerald Kiweewa bali mabega wa mitayimbwa olw’emisango ehyekuusa ku biyiiye byabwe.

2 Comments
 1. SSENNYONDO LAWRENCE says

  We are following you news corner Uganda

  1. Admin says

   We4bale nnyo Mukulu

Leave A Reply

Your email address will not be published.