Take a fresh look at your lifestyle.

Kenzo akomyewo ne banna Uganda abalala 230

Omuyimbi ono y’omu kuba Na Uganda  232 abayingidde eggwanga

  1. Omuyimbi Eddy Kenzo aludde nga awanjagira gavumenti ya Uganda okumuyambako okudda kubutaka kyadaaki atuuse kubuwangizi.

Omuyimbi ono y’omu kuba Na Uganda  232 abayingidde eggwanga nga babadde basiranira mu mawanga ag’enjawulo olw’embeera ey’obunkenke eyaletebwa akawuka ka Corona Virus munsi yonna.

Kenzo yatuukidde kuno ku nnyonyi ya Uganda Airlines okwabadde n’abantu abalala okuva e Nigeria, Ghana,Cameroon ne Cote d’Ivoire Kenzo gy’eyali agenze mu mwezi gw’okusatu (3) okukuba ekivvulu ng’ebiseera ebyo amawanga gaali teganaggalawo nsalo zaago.

  1. Omuyimbi  Kenzo kifaananyi waggulu

Ennyonyi Kenzo kweyagidde yabadde esuubirwa okutuuka ku kisaawe Entebbe ku ssawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro

wabula wabaddewo olugendo lweyongeddemu essawa endala mukaaga olw’okugwa ku bissaawe ebyenjawulo gyebabadde balina okusanga banna Uganda abalala.

Buli musaabaze yasasudde obukadde butaano obwakuno okusobola okuzibbwa kuno nga abakulu abawomye omutwe mu nteekateka eno tebafuddeyo wa webasanga omuntu eyabadde ayagala okutambulira ku nnyonyi eno.

Abawagizi ba Kenzo abawera bakungaanye ku kissaawe okumulinda wabula balemeseddwa

 

2 Comments
  1. Martin Rodgers says

    Tweyanzizza nnyo omulimu gwe mukola bassebo. Okutawandiikira amawuulire mu luganda guba mulimu gwa tendo nnyo.

    Ffe tusiima busiimi abanyumirwa okusoma olulimi oluganda! 😁

    1. Admin says

      Webale nnyo ssebo

Leave A Reply

Your email address will not be published.