Take a fresh look at your lifestyle.

Nantaba akwasizza Gerald Kiweewa! Oluyimba lubizadde!

Nantaba otaba naye ojja kussa omwana waffe bamukuba bayimba mbu embooko Zaake”

Omuyimbi Gerald Kiweewa nga yasinga kumanyika lwa luyimba lwe egaali ekozeko yakwatiddwa poliisi ng’emuvunaana lwakufumya luyimba lweyatuuma “Nantaba” nga luno yaluyimba n’omuyimbi akula Dina Lukoti.

Kigambibwa nti oluyimba luno lukoona buterevu Minisita Nantaba okusinziira kumusango oguvunaanwa omuyimbi Kiweewa.

 

Oluyimba lulimi ebigambo nga, “Nantaba otaba naye ojja kussa omwana waffe bamukuba bayimba mbu embooko Zaake” nga abasomera ebbaluwa mu baasa bagamba nti oluyimba luno lwandiba nga lukwata kulugero lw’omubaka omu ne minisita oli.

Kiweewa yakwattiddwa okuva e Kawempe era poliisi nekkiriza nti ono emulina wabula aba famile bafunye okusoomwozebwa bebagenze miu kifo byebabagambye nti omuntu waabwe gyaali ate nebatamusangayo edra nebatamulabako ekyaberalikirizza.

Okusinziira ku mboozi eyazanye ku NBS Tv ku pulogulamu UnCut omuyimbi Dina yagambye nti oluyimba luno lwa mukwano.

Ebibuuzo bino bikulu?

  1. Ani alina obwannanyini ku linnya?
  2. Kinaaba kyangu okulumiriza Kiweewa nga talina kifanaanyi kyeyakozesa eky’omu kw’abo abagamba nti oluyimba luno lukwata kubbo?
  3. Ani avunana Kiweewa?

 

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.