Take a fresh look at your lifestyle.

Kitalo, Pulezidenti Afudde!

akulembera eggwanga lya Tanzania emyaka 10

Eyaliko omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania Benjamin Mkapa afudde! Ono yazalibwa mu mwaka gwa 1938 nafa mu 2020.

Mkapa yakulembera eggwanga lya Tanzania emyaka 10 era yalondebwa mu kalulu akasookera ddala mu Tanzania okubaamu ebibiina by’obufuzi ebingi okuvuganya mu mwaka gwa 1995 era obukulembeze bwe bwaleeta enkyukakyuka sinziggu mubyenfuna bya Tanzania.

Ono yadda mu bigere bya Pulezidenti Ali Hassan Mwinyi.

Mkapa ajjukirwa nnyo olw’okussa amaanyi mukukungaanya omusolo gw’eggwanga ekyayamba okuweza ensimbi muggwanika ly’ebyensimbi erya Tanzania mukiseera weyaberera omukulembeze, yakomya okusasaanya okutetagasa gavumenti kweyali ekola awamu n’okusikiriza bamusiga nsimbi okugenda mu Tanzania.

Wabula era mubukulembeze bwe waliwo abekalakaasi 22 abattibwa nga balaga obutali bumativu baabwe kungeri Mkapa gyeyali awangudde akalulu ka 2001 era kino yakiwandikako ne mukitabo kye kyeyayita “My Life, My Purpose” era bwatyo obukulembeze yabukwasa  Jakaya Mrisho Kikwete mu mwaka gwa 2005.

Mkapa abadde n’omukyala omu Anna n’abaana abalenzi babiri.

Leave A Reply

Your email address will not be published.