Take a fresh look at your lifestyle.

Embeera mu South Africa Etabuse! Corona abalemeredde!

Mukiseera kino gavumenti etekateeka kusazaamu mwaka ogwa 2020 ogw’ebyensoma mu ggwanga lino nga bwebongera okwetegereza embeera.

 

South Africa y’emu ku mawanga wano ku lukalu lw’omuddugavu Africa ezisinze okukosebwa ekirwadde kya Covid19 nga erina omuwendo munnene ddala ogw’abantu abalwadde awamu n’abafudde akawuka kano.

Okusobola okukendeeza kumisinde obulwadde kwebutambulira, gavumenti ya Pulezident Ramaphosa eyisizza ekiragiro okuggala amassomero ga gavumenti gonna okumala omwezi mulamba.

Pulezidenti Cyril Ramaphosa yagambye nti mukiseera kino kyankizo nnyo  okuggala amassomero okusobola okukendeeza ku ntambula y’ekirwadde kino mukaseera nga South Africa kati y’emu kumawanga agasinze okukosebwa munsi yonna.

Kinajjukirwa nto South Africa yaggulawo amassomero nga 6 mu mwezi 7.

Mukiseera kino gavumenti etekateeka kusazaamu mwaka ogwa 2020 ogw’ebyensoma mu ggwanga lino nga bwebongera okwetegereza embeera.

Gavumenti ya Ramaphosa yawadde minisitule y’ebyobulamu $30bn okuyambako kumbeera ekyali enzibu ddala.

Leave A Reply

Your email address will not be published.