Take a fresh look at your lifestyle.

Wuuno azadde Bobi Wine muby’obufuzi

Bobi Wine abadde alina okusomoozebwa olwa bannabyabufuzi  abangi okumukirizaamu  n’ekisinde kye ekya People Power wabula nga talina kibiina kyabyabufuzi

Moses Nkonge Kibalama 58, yatandikawo ekibiina kya National Unity Platform (NUP) nga kati obukulembeze bw’ekibiina kino yabukwasizza Robert Kyagulanyi Ssentamu omubaka wa  Kyadondo East ate nga ono ye mukulebeze w’ekisinde ekya People Power.

Naye Kibalama eyatandikawo NUP Y’ani?

Kibalama yaliko omukuumi wa Obote era omugoba w’emottoka ye mu kiseera Obote weyaberera omukulembeze w’eggwanga.

Nga wayise akaseera yayingira eby’obufuzi okulwanyisa abaali batandise olutalo olw’ekiyekera ku mukama we mu mwaka gwa 1980.

Ono yayagala okugenda mumaaso n’eby’obufuzi era natandikawo ekibiina kye kyeyawandiisa mu mwaka gwa 2004 era yasooka kukiyita Ntianal Unity, Reconciliation and Development Party (NURP) wabula yatuuka nazitowererwa olw’obutaba nabusobozi bumala kuddukanya mirimu gya kibiina kino.

 

Kibalama agamba nti yawaddeyo ekibiinja kye eri Kyagulanyi okusobola okulaba enkyukakyuka mubukulembeze bw’eggwanga era mukiseera wawereddeyo ekibiina kino nga kirina ba memba 25,000.

NUP eyamba etya Bobi Wine.

Bobi Wine abadde alina okusomoozebwa olwa bannabyabufuzi  abangi okumukirizaamu  n’ekisinde kye ekya People Power wabula nga talina kibiina kyabyabufuzi mwagwa ate nga kino kyankizo nnyo okusinziira ku kifo kyagala okuvuganyako eky’obukulembeze bw’eggwanga.

Omukugu muby’obufuzi ayogedde.

Yadde ekya Bobi Wine okufuna ekibiina ky’ebyobufuzi ekikye buli omu akyogerako bibye, omukugu muby’obufuzi era munna mawulire omukutivu Dr. Samuel Kazibwe agamba nti Bobi Wine okufuna ekibiina ekikye kimuyamba nnyo nti era kyankizo kubanga kati alina wasinziira era nti kibadde kijja mumenya nnyo ssinga awangula akalulu nga talina babaka mu lukiiko lwaggwanga olukulu nti naye kati bwafuna ababaka abava mu kibiina kye kimuyambira ddala.

 

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.