Take a fresh look at your lifestyle.

Tina Fierce ayogedde kumulimu gwa NBS!

Annatalia ava ku mpewo abalabi be bagenda kumusubwako engeri gyawerezaamu ey’obugunjufu, engeri gyasengeka ebigambo bye ate byalonda obulungi ku mpewo, awamu nenyambala ye emuweesa ekitiibwa ng’omukyala.

Waliwo engambo ezibadde ziyita nti Tina Fierce  abadde akola pulogulamu y’olugambo ku Urban Tv wabula nawumuzibwa olw’ebigambo okumusobangako ku mpewo naddala bweyalinga akola emboozi ku Sheila Gashumba ekigambibwa nti yamutyoboola ku mpewo.

 

Tina kati yandiba nga afunye akamwenyumwenyu oluvanyuma lwa Annatalia Oze akola ku pulogulamu ya Unkut ku NBS engambo okutandika okuyita nti ono yandiba ng’agenda mubyabufuzi ekijja okuletawo eddibu eryamaanyi ku NBS naddala mu pulogulamu ya UnKut.

Era bwekiba nga ddala kituufu Annatalia ava ku mpewo abalabi be bagenda kumusubwako engeri gyawerezaamu ey’obugunjufu, engeri gyasengeka ebigambo bye ate byalonda obulungi ku mpewo, awamu nenyambala ye emuweesa ekitiibwa ng’omukyala.

Wabula mukaseera kano Tina eby’ogerwa yabesambye ng’agamba nti ye akyanyumirwa bulamu!

Pulogulamu ya Tina Sqoop on Sqoop yagyibwa ku mpewo ekitongole kyebyempuliziganya ekya UCC omwezi oguwedde era ekyanonyerezebwako mukaseera kano.

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.