Take a fresh look at your lifestyle.

Poliisi ya Uganda nkambwe okusinga Corona Virus! Esse Corona Tanatta!

Eky’ennaku okuva ekiseera ky’omuggalo bwekyatandika mu Uganda okutangira abantu ekirwadde kya Covid19, ebitongole nga poliisi byatekebwa kumwanjo okusobola okuyambako okukakasa nti ebigobererwa mukwerinda ekirwadde kino bitekebwa mu nkola naye ate abakuuma ddembe nebatta oba okuviirako okufa kwabana Uganda kati abasoba mu 12!

Ensi yonna ng’eri kubunkenke bw’ekirwadde ekikambwe ekya Covid19 ekisse namungi w’abantu okwetolola ensi yonna, Uganda ly’erimu ku mawanga amatono ddala ate era namukisa erifunye abalwadde ba covid19 naye ate abasawo nebakola bwezizingirire okutaasa abalwadde.

Eky’ennaku okuva ekiseera ky’omuggalo bwekyatandika mu Uganda okutangira abantu ekirwadde kya Covid19, ebitongole nga poliisi byatekebwa kumwanjo okusobola okuyambako okukakasa nti ebigobererwa mukwerinda ekirwadde kino bitekebwa mu nkola naye ate abakuuma ddembe nebatta oba okuviirako okufa kwabana Uganda kati abasoba mu 12!

Okuttibwa kwaba Na Uganda kuno kusinze kubeera mu mikono gya poliisi ya kuno, abajaasi awamu neba mukuuma byaalo aba LDU.

Okuviira ddala mu mwezi ogwo 3, bano babadde bakolera wamu naddala nga basinze kubeera buli awabadde wasuliddwa emisanvu okukasa nti aba bodaboda tebasabaza bantu awamu n’okukuuma essawa za kafiyu abantu kwebalina okukoma okutambula.

Kinajjukirwa nti LDU yasooka kutondebwawo mugye 2000 wabula obumenyi bw’amateeka bweyongera bweyongezi olw’eneyisa enkyamu eyakabondo ka LDU era ekigendererwa eky’okukuuma emirembe bwekyabula olwo LDU negibwawo, wabula ate yakomezebwawo wano jjo lyabalamu mu 2018 ebyembi eneyisa teyayawukana n’eri eyaliwo era kino kyawaliriza pulezidenti okuzaayo basajja be okutendekebwa.

 

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.