Take a fresh look at your lifestyle.

Embalu Ebizadde! Abagishu Mwagala Kwelwaaza?

Ku mukolo guno ogw'embalu abalenzi  kwe bafuukira abasajja mu Bugishu era tebabalibwa kuba basajja nga tebannakola mukolo guno.

Ku mukolo guno ogw’embalu abalenzi  kwe bafuukira abasajja mu Bugishu era tebabalibwa kuba basajja nga tebannakola mukolo guno.

Omwaka guno omukolo gw’Abagisu guno ogw’obuwangwa gutuukidde mu kiseera nga pulezidenti yawera enkung’aana olwa ssennyiga omukambwe ekintu Abagisu kye baasambazze nga bagamba nti omukolo guno gwa buwangwa era mukulu nnyo mu nnono z’Abagisu yadde nga ensi yonna eri ku bunkenke.

Mu kitundu eky’E Manafa abaserikale ba poliisi baagezezzaako okutangira abantu ababadde batandise okwetegekera emikolo gy’embalu,  kyokka olw`obungi bw’abantu ababadde bakung’aany batandise okulwanagana n’abaserikale nga bwe bategeeza nti  omukolo gw’embalu balina okugukola nga bajjajjaabwe bwe baagukolanga okuva edda ne’dda.

 

Ku mukolo guno ogw’embalu abalenzi  kwe bafuukira abasajja mu Bugishu era tebabalibwa kuba basajja nga tebannakola mukolo guno.

Ttiayika Rogers nga y’ayogerera poliisi mu nsozi za Elgon yagambye nti bo nga poliisi beetegefu okwang’anga buli muntu agezaako okumenya ebiragiro bya gavumenti.

Naye abaffe bbo abakulu mubyenonno mu Bugishu obulwadde tebabulaba? Oba tebabulidde bantu kimala ku bulwadde bwa Corona Virus.

Leave A Reply

Your email address will not be published.