Take a fresh look at your lifestyle.

Bwemunziba Akalulu nina Ekkubo Eddala- Bobi Wine abogodde

Yadde nga Gavumenti ezze ekyogera lunye nti akalulu lye kkubo lyokka erikirizibwa mu mateeka okukyusa obukulembeze. Bobi ye alina engeri endala eyenkyukakyuka!

BOBI Wine agambye nti akalulu 2021 agenda kukawangula na tonziriranga . Yalabudde nti ssinga anaawangula, akakiiko k’ebyokulonda ne katamulangirira, balinde ekiddako era kyebatalabangako.

Yadde nga Gavumenti ezze ekyogera lunye nti akalulu lye kkubo lyokka erikirizibwa mu mateeka okukyusa obukulembeze. Bobi ye alina engeri endala eyenkyukakyuka!

Nze ndi ntunnunsi ya nkyukakyuka. Nkulembera abavubuka ebitundu 80 ku 100. Bye njogera bwe biba bimenya mateeka kale poliisi ejje enkwate banvunaane. We yatuukidde ku ttivvi eno e Bwaise, poliisi yabadde etadde abaserikale okwetooloola ekifo nga baaza buli ayitawo.

Naye baasoose kumwaza. Abaamuwulidde ng’ayogera ku ttivvi baamulindiridde ku nguudo. Bwe yafulumye sityudiyo yalinnye emmotoka ye n’akwata Northern Bypass okudda ku lw’e Gayaza.

Poliisi yamuwerekedde okutuuka ewuwe e Magere. Bakira ayimirira okulamusa abantu, poliisi nga ebakubamu ttiyaggaasi okubagumbulula.

Ng’ali ku ttivvi yagambye nti alina amakubo mangi okutuusa obubaka ku bantu n’alaga bw’ayigganyizibwa okutuuka okuwera ennyimba ze ku ttivvi ne leediyo, n’okumugaana okukuba ebivvulu.

Awakanya kampeyini ezitaliimu nkung’aana  n’agamba nti ku ttivvi ne leediyo tebajja kusobola kutuuka mu bantu kubanga minisita yennyini yategeezezza nti Bannayuganda ebitundu 30 ku 100 bokka be balina amasannyalaze.

Kitegeeza abananoonya obululu ku ttivvi bajja kuwulirwa abantu batono abazirina. Ekirala ttivvi n’emikutu gy’empuliziganya emirala tukyalina ntono tezimalaawo bwetaavu.

Yawadde ekyokulabirako kya munisipaali y’e Kawempe nti omuwendo gw’abagenda okwesimbawo ne bw’obawa buli omu eddakiika emu boogere tebasobola kuggwaayo.

Ate ng’emikutu girina pulogulaamu endala tegigenda kubeera ku kampeyini zokka. Yalumbye abanene mu Gavumenti abakuba enkung’aana kyokka ng’abavuganya babakugira.

Yagambye nti batandise kwekweka mu masinzizo n’agattako nti abanene abo bwe baba tebalina gwe batya waakiri batye Katonda.

 

Ensonga ze ziizino

  • Obukulembeze obugondera amateeka. Nga bussa ekitiibwa mu ddembe lyobuntu. Abali mu buyinza Ssemateeka baamufuula nga emmeeza gy’olaba nga yeekiise mu mulyango, bw’obeera oyagala okuyitawo ogiggyawo, bwe balaba ng’etteeka libakwata nga baliggyawo.
  •  Ebyobulamu byetaaga okulwanirira kubanga ne mu kiseera kino ekya kkalantiini olwa corona, Uganda efunye ssente nnyingi kyokka tebazimbyeko wadde eddwaaliro. Ekyewuunyisa kwe kulaba nga bateesa okuteeka ebitanda mu kisaawe e namboole bajjanjabireyo abantu.
  • Ensonga eyookusatu ya Tripple AAA (Academics, Athletics, Arts). Ebyenjigiriza, ebyemizannyo, okuyimba ne katemba. Okuyita mu byenjigiriza, Uganda osobola okugifuula nga Jamaica.
  • Ettaka, ebyobugagga eby’omu ttaka birina okubeera ebya Bannayuganda bonna. Ng’awangudde, Uganda erina okuddamu okwetegereza enkola ku by’ettaka. Ajja kuzzaawo ebibiina by’obwegassi.
  • Okwegatta n’obumu bw’eggwanga ayagala kabineti nga buli Munnayuganda yeerabamu. Yakuutidde bannaddiini batye Katonda okusinga okutya Museveni.

Leave A Reply

Your email address will not be published.