Take a fresh look at your lifestyle.

Abasibe 8 batolose ku CPS mu Kampala, Poliisi Esattira!

Abatolose babadde bavunanibwa misango gya bubbi!

Abatolose babadde bavunanibwa misango gya bubbi!

Abatolose babadde bavunanibwa misango gya bubbi!

Ensonda ku CPS zaategeezezza nti abasibe abavunaanibwa emisango gy’okubba emmotoka baabakwata wiiki ewedde ku luguudo lwa Jinja Road, n’abamu okumpi n’ekibangirizi kya City Square, mu Kampala.

Bano ekitongole kya Flying Squad kibadde kigenda mu maaso n’okubakunya okwogera bannaabwe be babba nabo kyokka eby’embi ne batoloka omulundi gumu. Kiteeberezebwa nti abamu ku basajja bano babadde beenyigira ne mu kutta abantu nga bababbako emmotoka.

Okunoonyereza kulaga nti bano nga July 19, 2020 ku ssaawa 3:00 ez’ekiro, baasinzidde mu emu ku ofiisi ya Flying Squad, mwe baabadde babakuumira, ne bamenya omutayimbwa mu ddirisa oluvannyuma ne basikayo entimbe ezaabadde mu ofiisi ne bazizinga ng’omuguwa, olwo ne bayita mu ddirisa nga bakkirako ne bagwa wabweru w’ekizimbe kya CPS, ne bamalamu omusubi.

Abasibe abalala, ensonda zigamba nti baabadde babanoonyerezaako ku bigambibwa nti babba ku Bachina ssente obukadde 300.

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.