Take a fresh look at your lifestyle.

Munna Uganda awambiddwa ku nsalo ya Rwanda ne Uganda, UPDF erabude!

Eyawambiddwa yabadde ava kwokya manda ngadda wuwe mukisera eggye lya Rwanda welyamukwatidde, kisubirwa nti eggye lye Rwanda lyabbadde ligoba abakukusa ebyamaguzi kunsalo nga nono mwebamukwatidde.

 

Munna Uganda awambiddwa bamukwata mundu ababadde mubyambalo by’eggye lye Rwanda e Kabale.

Eyawambiddwa ye Levy Byomuhangi omutuuze we Rugarama mu Katuna.

Bino byakakasiddwa Lieutenant Colonel Robert Nahamya omudumizi weggye lya UPDF owa bataliyoni eyo 19 era ono yasabye omuwambe ateebwe.

Eyawambiddwa yabadde ava kwokya manda ngadda wuwe mukisera eggye lya Rwanda welyamukwatidde, kisubirwa nti eggye lye Rwanda lyabbadde ligoba abakukusa ebyamaguzi kunsalo nga nono mwebamukwatidde.

Ssentebe wa Katuna L.C 3, Nelson Nshangabasheija yategezezza nti banna Uganda bangi abakwatiddwa mungeri eyo.

Omwezi oguwedde Sydney eyali omutuuze ku kyalo Kagogo ekisangibwa mu muluka gwe Butanda mu disitulikiti ye Kabale yakubwa amaggye ga Rwanda amasasi nafirawo nga avunanibwa okukukusa ebibiriti ku kyalo Sebeya mu disitulikiti ye Burera era nga ekitundu kino kiri kumpi ddala ne nsalo ya Uganda ne Rwanda.

Mu banna Uganda abalala abazze bakwatibwa amagge ga Rwanda mulimu Susan Rwanjungu, Junensia Bazongoza ne Junensia Bazongoza bano basangibwa mu nimiro zabwe nebatwalibwa amaggye ga Rwanda.

Kinajjukirwa nti ensalo ya Uganda ne Rwanda yaggalwa okuva mu 2019 oluvanyuma lw’obutakaanya wakati wamawanga gombiriri, Rwanda yanenya Uganda okuwamba bannansi baabwe era n’okubasibira mu bifo eby’ekusifu.

 

 

Leave A Reply

Your email address will not be published.