Take a fresh look at your lifestyle.

FDC eyuuga. Abakulu basattira!

Ababaka abetaba kumukolo guno balabika nga bakaanya n’ensonga za Gen. Muntu ezamuviirako okutandika ekibiina ky’ebyobufuzi.

Eby’obufuzi nga bikutte akati mu Uganda, ekibiina kya FDC kyongedde okuyuuga oluvanyuma lw’ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) ekikulemberwa Maj Gen Mugisha Muntu okukansa omubaka wa Jinja Municipality East, Paul Mwiru nasala ediiro neyegatta ku kibiina kya ANT. Ono yabadde ne mubaka munne Gerald Karuhanga omubaka wa Ntungamo Municipality.

Kinajjukirwa nti omubaka Paul Mwiru yalondebwa ku kaada ya FDC nga mukiseera ekyo Gen Mugisha Muntu yeyali ssenkulu w’ekibiina kino okutuuka mu 2017 bweyawangulwa eyaliko omubaka wa Kumi Patrick Amuriat Oboi mu kifo ky’obwassentebe.

Guno ssi gwemulundi ogwasooka Gen. Muntu okuwangulwa mu FDC era nga ono yawangulwako Dr. Kizza Besigye mu 2009 kubwa ssenkulu bw’ekibiina kino ate mu 2010 ne 2015 era yamuwangula mu kalulu vaawo mpitewo banna kibiina bwebali basalawo ani anabakwatira omumuli mukuvuganya mukifo ky’obukulembeze bw’eggwanga.

RTD General Mugisha Muntu.

Kati waliwo okutya nti kino kyandiba eky’okulabika eri banna FDC abalala okwabulira ekibiina kino mukaseera kano era mu mwaka gwa 2018 mu mwezi ogw’ekkumi Ssabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi yawereza bakulembeze b’ekibiina kino ebbaluwa ng’abawadde ennaku kkumi nannya buli omu okuddamu ebbaluwa eyo mubuwandiike nga balaga wa webagwa mukibiina kino, era nti oyo ataddemu bbaluwa eyo yali yetemedde empenda ey’okwegoba mu kibiina.

Nga 25/09/2018, Gen Muntu yasinziira ku Hotel Africana mu Kampala nalangirira nti yali ayabulidde ekibiina kya FDC era wano weyategereza ensi nti yali wakutandikawo ekibiina ekikye, bweyabuzibwa lwaki yali ayabulidde FDC, yagambi nti okusalawo okutandika ekibiina ky’ebyobufuzi ekikye kyagendererwamu okuzaawo esuubi abantu lyebatakyalaba ku bibiina by’ebyobufuzi ebiriwo kati.

Ababaka ba palamenti abetaba mu lukungaana Gen. Muntu lweyakuba ku Hotel Africana mwemwali n’eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mukiseera ekyo Winnie Kiiza omubaka omukyala owe Kasese, mubalala mulimu

Karuhanga(Talina Kibiina)

Mwiru (FDC)

Anna Adeke (Wabavubuka)

Elijah Okupa (FDC)

Osegge (FDC)

Simon Oyet (FDC)

Hebert Ariko (FDC)

Gaffa Mbwatekamwa (NRM)

John Baptist Nambeshe (NRM)

Ababaka abetaba kumukolo guno balabika nga bakaanya n’ensonga za Gen. Muntu ezamuviirako okutandika ekibiina ky’ebyobufuzi.

Ekibiina ky’ebyobufuzi ANT kyatandikibwawo nga 19/03/2019 era obukulembeze bw’ekibiina kino bwalangirirwa nga 22/05/2019 wali ku Kampala Serena Hotel era abamu kubabaka abetaba kumukolo guno okuva mukibiina kya FDC mwalimu Prof. Morris Ogenga Latigo omubaka Agago ey’omumambuka, Abdu Katuntu ne Kiiza.

Ekyasinga okweralikiriza obukulembeze bwa FDC kwekulaba nga ate abantu abalangirirwa kubukulembeze bwa ANT abamu bali bava mu FDC.

Leave A Reply

Your email address will not be published.